Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 1,997 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Abalunzi b’embizzi e Masaka bali mu katu

February 15, 2017 · Mubiru Ali

Enkumi n’enkumi z’abalunzi b’embizzi mu Disitulikiti y’e Masaka gebakaaba gebakomba oluvannyuma lw’abatamanya ngamba okubatimba bbula nebabagamba nga bwebagenda okubagemera embizzi zaabwe omusujja gw’embizzi ate nebakomekkereza nga baziwaddemu eddagala effu.

Disitulikiti y ‘e Masaka wamu n’ey’e  Lwengo zizze zirwanagana n’ekirwadde ky’omusujja  gw’embizzi okumalira ddala emyaka ebiri egiyise.

Dr. Lawrence Mayega avunaanyizibwa ku by’ebisolo mu Disitulikiti y’e Masaka agamba nti abantu bano ababeerimbikamu bo tebabamanyi era agamba nti bagenda kufuba okulaba nga bongera okubangula abalunzi ku bikwata ku nteekateeka eno bwatyo n’alabula abalunzi okwerinda ennyo amalindirizi.

Dr. Mayega agamba nti bagenda kuggyayo n’agomubuto okulaba nga balwanyisa ababeerimbikamu .