Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 238 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Abalonzi baagala kusuuza Namuganza bwa Minisita

June 14, 2016 · Mubiru Ali

Abalonzi okuva mu gombolola ye Ivukula ekiri mu ssaza ly’ e Bukono ekisangibwa mu disitulikiti ye Namutumba bawandiikidde akakiiko ka Palamenti aka Parliaments Appointment’s Committee, nga kano kekavunaanyizibwa ku kukakasa abantu abalondeddwa Pulezidenti nga era kakulemberwa Sipiika Rebecca Kadaga nga bakakasa obutaksakasa mubaka waabwe Persis Namuganza kubwa Minisita omubeezi ow’ebyettaka .

Mu kiwandiiko kyebakwanze Kadaga ย nga kiriko emikono gya bantu 500 abalonzi , bagamba nti Namuganza empapula z’obuyigirze yagingirira ngingirire .

Bano ekiwandiiko bakyetwalidde bennyini ku Palamenti nga bakulembeddwamu Joseph Kirunda omu ku baanonyeza Namuganza akalulu .

Kirunda ne banne bwetubabuuzizza oba nga tebali mu kukozesebwa bagambye nti bakikoze ku lwabwe .

Namuganza nga tannayingira mu byabufuzi yali mumyuka wa RDC e Luwero .