Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 279 listening Simba FM Live

Abalongo aba Tanzania abazaalibwa nga begase bafiiridde ku myaka 22

June 4, 2018 · Mubiru Ali

Abalongo Maria ne Consolata aba Tanzania abazalibwa nga begase bafiiridde ku myaka 22 olw’obuzibu nga buva kukusa. Bano nga bakyala begattira wansi w’olubuto okumpi n’ekkundi era nga babadde bagabana ebitundu ebimu eby’omubiri omuli ekibumba n’amawuggwe so nga babadde n’emitima ebiri, emitwe egyenjawulo wamu n’emikono nga gyeyawudde.

Bano batwalibwa mu ddwaliro mu December nga balina obuzibu ku mitima wabula nebafa ku lw’omukaaga. Bano bamaliriza okusoma omwaka oguwedde ku University nga babadde basomesa abatendeke.

Maria ne Consolata bano bagaana okulongoosebwa okubawula era nga balina essuubi ery’okufumbira omusajja omu.

Bazadde baabwe baafa nga bakyali bato nebakuzibwa ekitongole ky’obwanakyewa eky’abakatuliki ekya Maria Consolata era ekyabatuuma amannya.