Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 451 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Abalenzi beerisizza nkuuli mu bya S.4

February 7, 2018 · Mubiru Ali

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board kifulumizza ebyava mu bigezo bya S. 4 eby'omwaka 2017 era nga abayizi ab'obulenzi bakoze bulungi okusinga abawala wabula nga essomo ly'olungereza n'ebya ssaayansi bikoleddwa bubi. 

Ssaabawandiisi w'ekitongole kino Daniel Odongo agambye nti abayizi abaatuula ebigezo bya 2017 baali bangiko okusinga abaatuula mu mwaka 2016.

Ebigezo bino bifulumiziddwa ku yafeesi ya Sssaabaminisita mu Kampala mu ttuntu lya leero era nga biraga nti abayizi 31338 bayitidde mu ddaala erisooka, 153665 bayitidde mu lyakubiri, 70797 bayitidde mu ddaala lyakusatu ate abayizi 131660 bayitidde mu ddaala lyakuna so ate 27955 bagwiridde ddala n'enkoona nezinywa. 

Odongo ategeezezza nti ekiviiriddeko abayizi okugwa Olungereza ne ssaayansi kwekuba nti basoma muwawa ate n'okukwata ebintu obukusu.