Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

abalema baagala omulamuzi kaweesa ave mu musango gwabwe

Abalema bakoze olutalo ku kkooti enkulu ewozesa emisango egy’engassi mu Kampala ku Twed Plaza ne balemesa abalamuzi, abakozi ba kkooti n’abalala abalina bizinensi ku kizimbe okufuluma ng’omulamuzi Kaweesa ali mu musango gwabwe taguvuddeemu.

Ku Lwokusatu, omulamuzi Henry Kaweesa Isabirye, yayisizza ekiragiro abalema abeegattira mu kibiina kya Balema United Effort kubbiri e Wandegeya okwamuka ku ttaka kwebakolera baliyirire n’omusumba Patrick Baligasiima obukadde 50 kyebatakkiriziganyizza nakyo.

Abalema bano, baludde nga bagugulana n’omusumba Baligasiima gwe balumiriza nti ayagala kubabbako ttaka. Baatwala omusango mu kkooti ewozesa emisango gy’ettaka ku Tweed nga bawawabira Omusumba kyokka ate kkooti omusango n’egusingissa bbo neebalagira bave ku ttaka.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort