Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 817 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abalangira abakulu mu Busoga bavuddeyo ku butakkaanya bwa Kadaga ne Namuganza

April 4, 2018 · Mubiru Ali

Abalangira , abakulu wamu  n’abataka  abakulu abeebuuzibwako ensonga mu  ssaza lye  Bukono mu Disitulikiti y’e  Namutumba basabye Omukulembeze w’eggwanga Yoweri  Kaguta Museveni ataawulule n’okumalawo obutakkaanya obuli wakati wa Minisita Persis Namuganza ne Sipiika Rebeca  Kadaga. 

Mu lukiiko lwabwe lwebaatuuzizza mu maka ga Mw. Baite Munobwa ku kyalo Ivukula nga lwetabiddwamu ba Ssaabalangira omuli omulangira Mukunya Milton Waako nè Ssaabalangira wa Bulamoji ow’ekitiibwa Naigobya Kisira Samuel, sssaako abakungu bangi abaagala emirembe mu Busoga ne Yuganda.

Abakungu bano bagamba nti ssinga obutakkaanya bugenda mu maaso ,  Busoga egenda kusigala mabega mubyenkulaakulana ate nga  Hon. Namuganza ne Hon.  Kadaga bonna baana ba Busoga kale basaanye buli omu ategeere olubimbirwe.