Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 262 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abalamuzi balaajanira tteeka lya Bufumbo na kwawukana

June 11, 2017 · Mubiru Ali

Omulamuzi atuula e Soroti Justice Batema agamba nti olw’okubulwa kw’etteeka erirunngamya ebyobufumbo awamu n’okwawukana,  bo nga abalamuzi kibafuukidde kizibu nnyo okusalawo eggoye ku ngambana wakati w’abaagalana ababadde awamu mu bufumbo naddala nga ekyo ekibagugulanya bombi bakirinako obwa nannyini. 

Emyaka ebiri egiyise,  amyuka Ssentebe w’ekibiina kya NRM, Haji Moses Kigongo yaggulawo omusango mu kkooti ng’ayagala Omukyala Olive gwebabadde bonna okumala emyaka, ayamuke ennyumba ye eri ku kibanja nnamba 13 ku Kololo Hill Drive Kyokka omulamuzi mu kkooti enkulu ekola ku nsonga z’ettaka n’asalawo nti Olive asiigale mu nnyumba eyo awatali kutaataaganyizibwa.

Omulamuzi Godfrey Namundi yalamula nga ennyumba eno Haji Kigongo ne Olive bombi bwebagirinako obwannannyini era n’ayimiriza Haji Kigongo wamu ne ba Agents be obugobaganya Olive .