Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 501 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Abalamazi 45 bagudde ku kabenje – Kyotera

May 30, 2017 · Mubiru Ali

Abalamazi abawerera ddala 45 bagudde ku kabenje,  bus ey’ekika kya Falcon nnamba T967 – BTA  ebadde eva e Tanzania okudda e Namugongo bweremeredde omugoba waayo n’agikuba ekigwo ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kyotera.

Abantu 27 beebakoseddwa nga basinze kukosebwa ku mikono , mitwe n’ebifuba era nga  bano baddusiddwa  mu ddwaliro ekkulu e Masaka .

Okusinziira ku beerabiddeko n’agaabwe , bagamba nti Bus eno ebadde ka lusozi bbuleeki nezikutuka nga tekyasobola kumalako

Ye Dr. Charles Kajoba nga akola mu ddwaliro e Masaka agamba nti abafunye obuvune obw’amaanyi bali basatu nga n’abalala bafunye ebisago ebitali byamaayi ku bitundu by’omubiri eby’enjawulo era nga bakola ekisoboka bo nga abasawo okujjanjaba abantu bano basobole okweyongerayo mu lugendo lwabwe.