ABALALA 5 BAVUNAANIDDWA OGWOKUGEZAAKO OKUTTA GEN. KATUMBA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
 
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga olwaleero abantu abalala 5 abagambibwa okuba nga balina kinene kyebamanyi kukugezaako okutta Gen. Edward Katumba Wamala, n’omukuumi we SGT Khalid Kuboit, okutta muwala we Nantongo Brenda Katumba ne Ddereeva we SGT Haruna Kayondo basimbiddwa mu Kkooti y’omulamuzi wa Nakawa.
Bano kuliko; Kagugube Muhammad alias Musiramu alias Mugisha alias Mbavumoja, 30 nga muvuzi wa booda booda e Kikaya, Kanyanya, Kawempe Division, Kampala; Walusimbi Kamada alias MUDINKA, 25 omuvuzi wa booda booda e Nabweru Zone II; Walusimbi Siriman Ayub alias Mukwasi Koja 42, omutuuze we Kabaganda Village, Kasangati T/C, Wakiso; Abdulaziz Ramathan Dunku, 46 omutunzi w’engoye owe Matuga, Wakiso ne Habib Ramathan Marjan 50, omutuuze w’e Lusanja.
Kati abakavunaanibwa baweze 7 nga kuliko ne; Ssembula Hussein Ismail alias Imamu Muto, 38 owa booda booda e Nakuwade, Wakiso ne Nyanzi Yusufu Siraje 46 omutunzi w’eddagala lyekinnansi omutuuze we Kyanja nga bakuvunaanibwa bonna emisango okuli ogwobutujju, egyobutemu ebiri wamu negyokugezaako okutta omuntu ebiri.
Share.

Leave A Reply