Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 129 listening Simba FM Live

Abakyala mwegatte ku DP ekibiina ekirina omusingi – Mao

July 29, 2016 · Mubiru Ali

Ssenkaggale w’ekibiina kya DP , Norbert Mao akakasizza banna Yuganda nga DP ekibiina ekirina omusinji ogw’obugunjufu n’ekitiibwa mu by’obufuzi era ekitegeera ebizibu by’abantu era kisobola okubimalawo .

Norbert Mao, abadde atongoza DP Women League ekulemberwa omubaka Florence Namayanja ku mukolo ogwabadde ku Flora Hotel e Wakiso .

Agamba nti yeewuunya okulaba nga abantu baddukira mu bibiina ebitalina musingi yadde ba Jajja abasobola okubuulirira abakulembeze b’ekibiina singa wabaawo okutambula obubi . Mao agamba nti DP wakati mu kusoomoozebwa okwabuli ngeri eyimiriddewo era mpanguzi .

Mao ayongeddeko okusaba abakyala baveeyo beegatte ku kibiina ekirina omusinji baleme kugenda na bibiina ebitalina ba Jajja .