Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 348 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

abakyala b’e makindye bekozeemu omulimu okwekulaakulanya

March 9, 2019 · Mubiru Ali

Abakyala abakulembeze ku Gombolola ya Makindye Mutuba III, batandiseewo kaweefube w’okwekulaakulanya nga bafuna emisomo okuva mu bakugu basobole okutumbula embeera z’omu maka gaabwe.

Ku mulundi guno, bakyaliddeko Mukyala Racheal Ddungu Lubowa, owe Buziga, omulimi era omulunzi omukuukuutivu.

Mukyala Lubowa asabye abakyala ba Buganda okwettanira okulimira awatono nga balima ebirime ebinaabawa ensimbi.
Abalaze engeri gyalimamu emmere, okukola ekijimusa okuva mu kasasiro wamu n’okusimba ebimuli ebimuyambye okukuuma obutonde bwensi.

Enteekateeka eno ekulembeddwamu Mukyala Amina Kinaazika, omukulembeze w’abakyala mu Gombolola ya Mutuba III Makindye.