Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 712 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Abakwatiddwa babadde batabangula emirembe – Brig. Karemire

September 12, 2019 · Mubiru Ali
Omwogezi w’eggye lya Uganda People’s Defense Forces (UPDF) Brig. Richard Karemire avuddeyo nayogera ku kuddamu okukwatibwa kw’abasajja 4 okuli; Yusuf Nyanzi, Jibril Kalyango, Joshua Kyambadde ne Yusuf Mugerwa wamu ne Munnamateeka waabwe James Mubiru. Brig. Karemire agamba nti bano bakwatiddwa aba Joint Security Forces nga bakuumirwa mu bifo ebiri mu mateeka ku bigambibwa nti batambangula eddembe.
Ono mu bigambo bye agambye nti Bannayuganda betaaga eddembe era nga abebyokwerinda bakukola kyonna ekisoboka ekiri mu mateeka okulaba nti bakuuma Bannayuganda mu mirembe. Wabula ono agaanye okunnyonyola wa abakwate gyebakuumirwa.