Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 489 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Abakungubazi basattira, Omugenzi yalaama kumuziika mu fuuti 100 – Kamuli.

March 22, 2016 · Mubiru Ali

Abakungubazi e Namasagali mu disitulikiti ye Kamuli basattira wamu n’okuzikubamu amakiikakiika lwa mutuuze munnaabwe kulaama bamuziike mu ntaana ya fuuti 100.ย 

Nansololo ye yafudde mu Gombolola ye Namasagali mu disitulikiti ye Kamuli wabula abakungubazi bagenze okuggyayo ekiraamo nga ayagala kumuziika mu ntaana ya fuuti 100 nti abasezi baleme okumulya. Ekireetedde abakungubazi okutunula omukonga nga kino tebakirabangako wadde okukiwulira era bwebatyo nebongezaayo okuziika nga bibasobedde kubanga entaana entuufu eba ya fuuti 7.