Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 372 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abakungu okuva mu Minisitule ekola ku by’obugagga obw’omuttaka mu Gavumenti ya wakati

October 29, 2020 · Mubiru Ali
Abakungu okuva mu Minisitule ekola ku by’obugagga obw’omuttaka mu Gavumenti ya wakati, basisinkanye abakungu ba Kabaka nga baagala engeri gyabyinza okukwatagana n’obwakabaka nga bazimba omudumu gwamafuta ogunaava e Hoima okudda e Tanzania n’okuva e Hoima okuleeta amafuta e Kiringente mu Mpigi.
Bwabadde ayogerako gyebali, Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Minisita w’ebyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka, Owek Robert Waggwa Nsibirwa agambye nti Obwakabaka bubasabye balage engeri gyebanaakwatamu Obuwangwa n’ennono , obutondebwensi , emiziro gy’Abaganda, ate era n’’okulaba nga ennyumba z’abantu tezonoonebwa nga basima omudumu guno.
Abakungu bakulembeddwamu Engineer Herbert Magyezi Mugizi.
Ensisinkano ebadde ku Bulange era yetabiddwamu Minisita w’Obuwanga, Ennono n’Obulambuzi Owek David Kyewalabye Male, Minisita w’ettaka, obulimi n’obutondebwensi Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, Ssentebe wa Boodi ya Buganda Land Board Owek Martin Sseremba Kasekende, n’abakungu abalala.