Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 780 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM
News

Abakungu okuva mu Bwakabaka betabye mu kusabira omugenzi Mpanga

November 22, 2023 · Mubiru Ali

Nnaabagereka, ba Nnaalinya, Abalangira, Abambejja, Omumyuka wa Katikkiro asooka, ba Katikkiro abaawummulu, Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna, abakulembeze mu gavumenti ya wakati bannabyabufuzi, abantu ab’enjawulo bonna beegase ku bannaddiini mu lutikko e Namirembe okusabira Oweek. Joyce Mpanga Rovincer.

Maama Nnaabagereka Sylivia Nagginda atenderezza nnyo Owek. Joyce Mpanga olw’omukwano omungi gw’abadde alina eri abantu nga naye kennyini abadde mukwano gwe nfaafe era nga amuwabula mu nsonga nnyingi. Bino bibadde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Owek. Mpanga mu Lutikko e Namirembe.