Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 644 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abakungu mu Bbanka Enkulu bakwatiddwa

June 14, 2019 · Mubiru Ali

Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi wamu n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga nga kakulirwa Lt. Col. Edith Nakalema kalumbye Bbanka enkulu ey’eggwanga nekakwata ba Directors 5 okuyamba kukunoonyereza kubigambibwa nti bakuba ssente ezensusuuba obuwumbi 90 ezisinga kwezo ezalina okukolebwa mu German ssente za Yuganda gyezikubirwa.
Okusinziira ku b’ebyokwerinda kyavudde ku muntu omu okutemya ku b’ebyokwerinda nga bwewaliwo omuwendo gw’ensimbi oguwerako ogwabulira ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe nga zakatuusibwa okuva e German okwolekera e Kampala.
Kigambibwa nti emyezi 2 egiyise abakulu okuva mu Bbanka enkulu babisaamu engato okwolekera German ku nnyonyi empangise okugenda okukima ssente ezaali zimaze okukubibwa wabulu mbu bwebatuuka e German nga bano baali bakulembeddwamu Dr. Barenzi nga Deputy Director in charge of operations nayingira mu ddiiru y’okukuba ssente endala okusinga kw’ezo ezalina okukubibwa. Kigambibwa nti Dr. Barenzi Charles Malinga Akol nga ono yakola nga Executive Director Operations eyali mu luwumula.

Kigambibwa nti bano bwebakomawo okuva e German bayanirizibwa abakungu okuva mu Bbanka enkulu nebateeka ensimbi obuwumbi 90 mu motoka zaabwe endala neziteekebwa mu motoka za Bbanka.
Kigambibwa nti wakati wa Kampala ne Entebe obuwumbi 90 twebwatuuka gyebwalina okuterekebwa mu Bbanka enkulu.