Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 125 listening Simba FM Live
News

Abakungu 3 ku Disitulikiti y’e Mubende bakwatiddwa

April 18, 2024 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obukenuzi wamu n’obuli bw’enguzi okuva mu maka g’omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force kakutte abakozi ba Disitulikiti y’e Mubende 3 okuli; 1. John Baptist Muzibira – District Engineer, 2. Kamya John Birungi – Civil Engineer ne 3. Ssendikadiwa Vito Bosco – Acting District Health Officer, kubigambibwa nti bakozesa bubi offiisi zaabwe wamu n’okulagajjalira emirimu gyabwe.
Kigambibwa nti Ssendikadiwa Bosco, nga contract manager ne banne ababiri abalina okulondoola pulojekiti ez’enjawulo balemererwa okulondoola pulojekiti ezaali zikolebwa ekyaviirako okulemererwa okumaliriza emirimu wamu n’okukola omulimu egyekibboggwe mu kugaziya maternity ward wamu n’okuzimba ekifo abalwadde webalindira ku ddwaliro lya Kibalinga Health III mu Disitulikiti y’e Mubende. Bano bakuumirwa ku Poliisi ya Mubende Central Police Station ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso n’oluvannyuma bakusimbibwa mu Kkooti bavunaanibwe.