Breaking
News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 398 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Abakulira Munisipaali Bamenye ekkanisa y’abalokole – Mubende

January 25, 2018 · Mubiru Ali

Abakulembeze ba Munisipaali y'e Mubende bamemenye ekkanisa y'abalokole ebalirirwamu obukadde bw'ensimbi 200 ebadde yazimbibwa mu ngeri emenya amateeka. 

Ekkanisa emenyeddwa y'eya Faith Alive Church ebadde yazimbibwa ku kyalo kya Kibaati mu Munisipaali. 

Norah Kiiza Kiwuuwa avunaanyizibwa ku kuteekerateekera e kibuga Mubende ategeezezza nti baludde nga bannannyini  kkanisa eno okuyimiriza okuzimba ne beerema nti kubanga babadde bazimba mu lutobazzi ekintu eky'obulabe eri obulamu bwa bantu. 

Bo abamu ku bantu ababadde basabira mu kkanisa eno bakukkulumidde aba Munisipaali olw'okumeya ekkanisa yaabwe kye bagamba nti sikyabwenkanya kubanga bamaze ebbanga ddene nga basonda ensimbi okuzimba ekkanisa eno era nga abakoze kino katonda agya kubabonereza.