Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 327 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abakulira eddwaliro ekkulu e Masaka bali mu kaduukulu

January 5, 2017 · Mubiru Ali

Emirimu ku ddwaliro ekkulu e Masaka gisannyaladde enkya ya leero oluvannyuma lw’abakozi mu  eddwaliro lino abawerera ddala musanvu nga mwotwalidde n’alikulira Dr. Florence Tugumisirize awamu n’akulira enzirukanya y’emirimu Ereazer okugobebwamu obwala ekiro ekikeesezza olwaleero.

Abantu bano bakimiddwa Police nga bayambibwako ba Ofiisa okuva mu maka g’obwa Pulezidenti abalondoola eby’eddagala olw’ebigambibwa nti ensimbi obuwumbi  butaano zaabulankanyizibwa.

Omusasi waffe e Masaka Margret Kayondo atutegeezezza nti bo abasawo abaasigaddewo balabiddwako nga bagobaganya abalwadde ababadde bakedde okuggya okufuna obujjanjabi ekikolwa ekiggye abangi mu mbeera.

Bo abaagombeddwamu obwala bakyatemeza mabega wa mitayimbwa mu kaduukula ka Police e Masaka era nga ensonda ennekusifu zitegeezezza nti bano bagenda kutwakibwa e Kampala mu kkooti bawerennembe n’emisango egy’obukenuzi nga bino byavudde mu Alipoota ya saababalirizi w’ebitabo eraga nti abantu bano baalemererwa okuwa embalirira ya buwumbi butaano.

Ye Swaibu Sulambaaya nga ye Ssentebe w’abalwadde mu ddwaliro lino ery’e Masaka asanyukidde eky’okugombamu obwala abaddukanya eddwaliro lino ng’agamba nti baali baggyawo n’ekyokuwa abalwadde  emmere so nga Gavumenti esasulira emmere eno .