Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 909 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abakulira eby’okwerinda boogedde ebisongovu

April 18, 2018 · Mubiru Ali

Oluvannyuma lw’abatuuze mu kabuga k’e Mbalala Mukono okusuulibwa ebibaluwa nga babaagalako ensimbi, waliwo olukiiko lw’ebyokwerinda olukubiddwa mu kitundu kyabwe era nga lubadde lwa bbugumu nnyo olutuusiza n’abakulu okwogera ebisongovu.

Abatuuze babadde balumiriza GISO w’e ggombolola y’e Nama, Muhammad Wamala okukweka ababbi olutatadde nga tayagala kubaatuukiriza.

Bino okubaawo kyaddiridde GISO ono Wamala okutegeeza nga ye bw’amanyi abaawandiise ebibaluwa bino nti naye taajja kubaatuukiriza olwo abatuuze kwe kutabuka.

Kino kiwalirizza  Commissioner wa Police,  Anatoli Muletelwa okutabukira abatuuze n’abategeza nga bw’atagenda kwogera bulungi kubanga tagenda kubakwana.

Ye Rdc wa Disitulikiti y’e Mukono Nasser Munulo ,  anenyezza nnyo abakulira eby’okwerinda mu kabuga k’e Mbarara okubeera n’effuga bbi nga kati batuuse n’okulemesa abantu okuwaayo obujulizi neyennyamira nti bandibadde bamaze okuzuula eyawandika ebibaluwa bino.