Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 273 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abakulira Bank of Uganda bagobwe – Ssempala UPMA

September 10, 2019 · Mubiru Ali
Ekiwayi ky’abavubuka abegattira mu kibiina kya Uganda Poor Movement Activists bavuddeyo ne basaba Akakiiko okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi aka @Anti Corruption Unit – State House Uganda okukola okunoonyereza ku bakozi ba Bank enkulu abagufudde omugano nga ogw’enswa okubba ssente enkadde ezibeera ziziddwayo okusanyizibwawo mu matabi ga Bank enkulu okwetoloola eggwanga lyonna.
Kino kidiridde akakiiko kano okulumba ettabi lya Bank enkulu e Mbale nekakwata abakozi abaali begumbulidde okubba ensimbi enkadde zebalinanga okwokya. Ssempala Zayid nga ono ye mwogezi w’ekiwayi kino bwabadde ayogerako eri Bannamawulire agambye nti akakiiko kano kasaanye kanoonyereze ku matabi gonna okwetoloola eggwanga kuba obubbi buno bukolebwa mu matabi gonna.
Ssempala era asabye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo akole enkyuukakyuuka mu bwangu mu bakulira Bank of Uganda nga agamba nti balemereddwa okutuukiriza emirimu gyabwe.