Abakulira amasomero ga Pulayimale baggaliddwa – Mubende

Abakulira eby’enjigiriza mu Disitulikiti y’e Mubende nga bali wamu ne Poliisi baliko abasomesa n’abakulira amasomero g’obwannannyini abawera 13 bebakute ne baggalirwa  lwa kujeemera biragiro bya Gavumenti ne baddamu okusomesa abayizi mu masomero agaali gaggalwawo edda nga tegalinabisaanyizo. 

Ebikwekweeto bino bitandikidde mu Kasambya nga
bikulembeddwamu amyuka akulira eby’enjigiriza mu Disitulikiti y’e
Mubende  Kasimu Balinda mwebaggalidde  amasomero musanvu okubadde ; Good life Nursery P/s, Green Star p/s, Kids Hope Kirume P/S , St Mathias KiwubaP/S, Orion Community P/S, West Hill P/S ne Brain Infant P/S nga gonna tegabadde na Layisinsi wadde abasomesa abatendeke ekiviirako abayizi
okugwa ebigezo eby’akamalirizo.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Obuyinza buli mu bantu – Omulamuzi Tibatemwa