Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 297 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abakulembeze tebakyaswala – Bobi Wine

September 27, 2019 · Mubiru Ali

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo ku by’okulonda okwabadde e Hoima; “Ndabye Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM abatonotono nga bajaganya nga bwebawangudde kyanuku! Newuunya omuntu ali mu mbeera ze nga ategeera bulungi okuvaayo najaganya oluvannyuma lwebyabaddewo.
Omukulembeze oyinza otya okuvaayo nojaganya olw’okunyaga Bannayuganda? Wadde nga mubadde temulina nsonyi nga mububba munzikiza, olwaleero Bannansi babadde babuufu nga buli ekigenda mu maaso bakikwata ku butambi. Kikwasa enyiike nga bannyinaffe ne baganda baffe abali mu byambalo bebakozesebwa okuggya ku Bannansi bannabwe obuyinza!

Bannayuganda banange, wadde nga twetegekera okuwakanya okubbibwa kwa mwanyinffe Nyakato (Forum for Democratic Change), tulina okufuba okulaba nti kino kikoma!