ABAKULEMBEZE BA NUP BAGAANIDDWA OKUYINGIRA E BOMBO OKULABA KIBALAMA

Abakulembeze ba National Unity Platform – NUP okuli Pulezidenti w’ekibiina, Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, Ssaabawandiisi David Lewis Rubongoya wamu n’omwogezi w’ekibiina kino Omubaka Joel Ssenyonyi balambudde ku mutandisi w’ekibiina kino Moses Nkonge Kibalama eyatwaliddwa mu Ddwaliro ly’amagye e Bombo gyetwaliddwa nga atawanyizibwa ekirwadde kya Puleesa.
Wabula bano basanze akaseera akazibu okuyingira okumulaba bwebagaaniddwa omusirikale azze nalagira abasirikale ababadde ku ggeeti olwokubakiriza okuyingira.

Leave a Reply