Breaking
News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 441 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Abakulembeze ba Municipaali y’e Mukono baagala Divizoni zisalwemu

August 30, 2016 · Mubiru Ali

Olukiiko olufuzi olwa Municipaali y’e Mukono lusabye Gavumenti ng’eyita mu Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu esalemu Divizoni ezikola Municipaali eyo , kisobozese abakozi ba Gavumenti okutuusa obulungi empeereza yaabwe  eri abantu bonna.

Bino abakulembeze babyogeredde mu lukiiko  oluyitiddwa omubaka akiikirira Municipaali eyo mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Hon . Betty Nambooze , okusala amagezi ag’okukulaakulanya Municipaali eyo .

Omuabaka Nambooze agamba nti buli lukya omuwendo gw’abantu gweyongera obungi mu Municipaali eyo, nga kati eggombolola ezirimu zeetaaga kusalwamu , bafune n’abankozi abamala okutuuka obulungi ku bantu bonna .

Nambooze era asabye n’abakulembeze bokumitendera egya wansi , okussa ku bbali eby’ebibiina by’obufuzi ebibaawulamu , bateekewo enkola y’emirimu ennungamu egasiza awamu abantu bonna .