Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 188 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abakulembeze ba DP muyige okukwata obudde – Bannamawulire

August 14, 2019 · Mubiru Ali

Bannamawulire ababadde bagenze okukwata amawulire mu lukungaana lwa DP olwa Bannamulire olwabuli wiiki bavudde mu mbeera nebekandagga nebava ku City House nga bagamba nti abakulembeze ba Democratic Party Uganda – DP bakifudde muze obutakwata nga budde.
Olukiiko luno lubadde lulina okwogererwamu Pulezidenti w’ekibiina kino Norbert Mao eyazze nga Bannamawulire bamaze okugenda. Kigambibwa nti baba balina okutandika okwogerako eri Bannamawulire ku ssaawa nnya ez’okumakya nti wabula ziweze ssaawa ttaano nga abakulembeze ba DP tebanatuuka mu kifo kino.
Bannamawulire bagamba nti guno gubadde gufuuse muze nga buli lwebajja ku kitebe kya DP kumpi bamala olunaku lulamba nga bakwata mawulire gaabwe gokka.