Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,329 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abakulembera NRM balagidde ba Memba obutaddamu kwogera ku kya kkomo lya myaka gya Pulezidenti

August 7, 2017 · Mubiru Ali

Akakiiko akafuzi aka NRM ak’okuntikko kalagidde bannakibiina bonna okwesammulira ddala eby’okwogera ku nsonga y’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. 

Abamu ku batuula ku kakiiko kano basinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku yafeesi z’ekibiina kino mu Kampala olwo nebalyoka bambalira abamu ku ba memba mu Kibiina abagenda nga boogera ebigambo byebatalinaako mutwe na magulu .

Bano bakulembeddwamu amyuka Ssentebe wa NRM mu Kampala Disitulikiti,  Godfrey Nyakaana, ne munne bwebafaananya emirimu e Karamoja Simon Arapa ne Ssentebe w’abaliko obulemu mu Kibiina,  Gabriel Kkato wamu n’owabavubuka Gabriel Nasoor kyebagamba nti kiyinza n’okutaataaganya Manifesto y’ekibiina.