🗳️ Abakozi mu Minisitule evunaanyizibwa ku byentambula n’enguudo 2 okuli Surveyor ne Valuer bakwatiddwa ku bigambibwa nti bano be bali emabega wokulya ssente ezaali ezokukola oluguudo lwa Nateete-Nakawuka-Kasanje-Kisubi.
Kigambibwa nti bano bazze bekobaana n’abatuuze nebazimba amayumba mu bwangu olwo nebaliyirirwa obuwumbi bw’ensimbi olwennyumba zaabwe okumenyebwa mu bifo awagenda okuyita oluguudo.
Bya Barbara Nabukenya
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

