Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 258 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abakozi mu kkampuni ya Blue Wave babiri bafiiridde mu kabenje

February 27, 2018 · Mubiru Ali

Abakozi ba Kkampuni y'amazzi eya Blue Wave babiri bafiiriddewo mbulaga mu kabenje oluvannyuma lwa loole mwebabadde batambulira okugwa ku kabenje ku kyalo Walugogo nga waakava mu kibuga Iganga ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga.

Omusasi waffe Willy Basoga Kadama agamba nti omugoba wa mmotoka ebadde etambuliramu abakozi bano nga naye kati mufu[, abadde taasa omugoba wa Bodaboda abadde ayingidde mu luguudo mu ngeri ey'ekimama era bwetyo emmotoka n'emuva mu mikono okukkakkana nga yeefudde emirundi egiwerako. .

Kabole Ivan nga naye mukozi mu kkampuni ya Bule Wave nga ono abadde avaako emabega mu mmotoka ya kkampuni endala gamba nti babadde basindikiddwa Soroti era nga gyeboolekera. Kitalo !!!