⚽ Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA 2 bisindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira lwakwegabula akekinyi akenkanu okuva muyizi wa Yunuvaasite ali mu mwaka gwe ogusooka nga 23 September 2026.
Kigambibwa nti Mukisa Julius ne Osena Ismail omutuube gwakekinyi gwabatemba bwebakwata omuyizi ono nga bamulanga okulinnya mu muddo nebamulagira okuwa engasu ya mitwalo 10 oba okukirira emugga akimeyo ebiddomola by’amazzi 50 ebyamulema.
Bano basala agenkolwa nebamwolekeza ABC2 Guest House nebemala ekimiirimiiri, nti wabula basooka kumukuba bifaananyi byobuseego nebamutiisatiisa okubisaasaanya ku mikutu emigattabantu singa teyabakiriza kukuba kinakanaka.
Bya Christina Nabatanzi
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

