Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 320 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abakozi bekalakaasizza lwabutasasulwa

July 4, 2019 · Mubiru Ali

Abakozi abasoba 300 nga bano bazimba Company ya Bayindi esangibwa e Matugga Ku Bombo road mu Disitulikiti y’e Wakiso baavudde mu mbeera nebekalakaasa nebatuuka n’okuwamba Manager waabwe Sonko Charles nga ono babadde batandise n’okumugajambula lwakugaana kubasasula ensimbi zaabwe zebakolera eziwereza ddala obukadde 10.
Bano bagamba nti bakama baabwe Abayindi babawa ssente babasasule kyako bbo nebatandika okubuzabuza nti Abayindi tebanabawa ssente.
Poliisi y’e Matugga nga ekulembeddwamu OC station ASP. Obotol Bosco Patrick bataasizza Manager ono ne munne Balisema Fred nebabaggalira ku Poliisi e Matugga.
Ye Engineer Charles yadduse.
Manager Sonko James yagambye nti akimanyi bulungi nti Abakozi babanja obukadde 10 era nga bajja kubasasula.