Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 361 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

abakozi ba gavumenti mubeere bagumu – Muluuli mukasa

January 15, 2019 · Mubiru Ali

Minisita w’abakozi, Muluuli Mukasa asabye abakozi mu bitongole Gavumenti by’etaakateeka okugatta obutatundugga mmeeme n’agamba nti kino kyakubayamba bbo ng’abakozi ate ne Gavumenti mu ngeri ez’enjawulo.
Ng’ayogera eri ab’amawulire e Sseeta ku muzikiti gw’Abasiraamu Abahmdiyya, Minisita Mukasa yagambye nti Gavumenti yakufissa ensimbi nnyingi ezibadde zitokomoka mu kuyimirizaawo ebitongole ebingi ebyazuuliddwa ng’ebimu bibadde bikola emirimu gyegimu.
Agambye nti ensimbi zino zaakuyamba okwongeza omusaala gw’abakozi n’okubasasula mu budde. Wabula agumizza abakozi abookukosebwa mu nteekateeka eno n’agamba nti bagire nga bakyali bagumu kuba enteekateeka eno tegenda kupapirwa nga yaakutwala ebbanga eriri eyo mu myaka 3 okutuusa ng’ebintu bingi biteekeddwa mu nkola.