Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 310 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Abakkulisitu basabiddwa okunyweza empisa y’obuntu bulamu

April 1, 2018 · Mubiru Ali

Abakkulisitu mu ssaaza lya Kiyinda Mityana basabiddwa okunyweza empisa ey’obuntu bulamu okusobola okuzuukira wamu ne Yezu Kkulisitu

Bino byogeddwa omuwandisi w’obusumba bwa Kiyinda Mityana Tamale Emmanuel bw’abadde mu kuyimba Misa ey’amazuukira ku kiggo kya Our Lady of Fatima e Mubende .

Rev. Fr. Tamale ategeezezza nti obuntu bulamu buwedde nnyo mu bantu ate nga y’empagi enkulu mu bulamu obwa bulijjo ekiviiriddeko bangi okusiiwuuka empisa n’okutuusa obulabe eri bannaabwe.

Annyonnyodde nti abakkirisitu basaanye okukozesa amazuukira ga Yezu Kkulistu nga badda eri Omukama.