Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 513 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abakadde abakulu abeebuuzibwako ensonga mu Bukama bwa Tooro bawakanya eky’okukwata ku nnyingo 102b

October 16, 2017 · Mubiru Ali

Abakadde abakulu abeebuuzibwako ensonga mu Bukama bwa Tooro bawakanya eky’okukola ennongoosereza mu Ssemateeka ku nnyingo ya 102b era nga bagamba nti ensonga eno abagiriko baalibadde bagiggyamu enta.

Bano mu kiwandiiko kyebaayisizza baagambye nti bbo nga abakadde balaba nga ensonga eno eriwo ssi y’esiiwa n’okuluma Bannayuganda n’olwekyo yaalibadde teyanguyirizibwa.

Era beebuuza abantu abaayaayaanira ensonga eno obwangu bwebazudde obwetaagisa okugikolako songa ate waliwo ensonga endala nnyingi zebalowooza nti zaalibadde zikolebwako naye ate zisuuliddwa muguluka songa ze zisinga okuluma Bannayuganda.