abajulizi mu gwa kitatta tebalabiseeko

Abajulizi ku ludda lweyali omuyima wa Boda Boda 2010 Abdullah Kitatta tebalabiseeko olunaku lw’eggulo mu kkooti y’amaggye. Ababadde basuubirwa kuliko Private Kenneth Okello nga ono yavunaanyizibwa ku kifo awaterekebwa emmundu ku Poliisi ya Old Kampala, Sgt. Allan Matsiko nga ono yali mukuumi wa Kitatta owokubiri era nga ye nnanyini kifo kya Vine Tea Hotel kitatta gyebamukwatira nga 22 – February – 2018.
Munnamateeka we Shaban Sanywa yategeezezza kkooti nti ssamanizi ezaali ziyita bano okulabikako mu kkooti zaweebwayo ku kitebe kya Poliisi e Naguru ate endala nezitwalibwa ku Vine Teal Hotel wabula abantu bano nebagaana okulabikako.
Oludda oluwaabi bwerutyo lwasabye Ssentebe wa Kkooti y’amaggye Lt. Gen. Andrew Gutti nti Kitatta azibweyo mu kkomera ly’abantu babulijjo e Kigo agibwe mu ly’amaggye e Makindye.
Wabula Lt. Gen. Gutti yalagidde Kitatta atwalibwe mu Kkomera e Luzira kuba lyo liri kumpi okusinga ku Kigo nti era n’ensonga z’ebyokwerinda zaatereezebwa so nga n’omusango gunatera okusalibwa. Okuwulira omusango kwayongezeddwayo okutuusa nga 8-April-2019.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Betty Kamya azzizzaayo omuliro eri Nambooze ku kugaziya ekibuga