Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 156 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Abajingirira ebiwandiiko byobuyigirize nebaweebwa emirimu okusomesa basimbiddwa mu Kkooti

November 13, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’Omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kali wamu ne Uganda Police Force katutte abasomesa 6 mu Kkooti y’omulamuzi w’eddaala erisooka e Kanungu ku misango gy’okukozesa ebiwandiiko byobuyigirize ebijingirire wamu nokuwaayo ebiwandiiko bino okufuna emirimu.
Kigambibwa nti bano baweebwa emirimu mu matendekero okuli; Nyakatare Tech Inst, Bishop Comboni Coll ne Kihihi HS nebafiiriza Gavumenti obukadde bwa silingi 500 mu misaala. Bano basindikiddwa ku alimanda okutuuka nga 17/11/2022.