Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 284 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Abajaasi 110 bannyuse amagye

December 18, 2016 · Mubiru Ali

Ababadde abajaasi ba UPDF 110 beebasiibuddwa okuva mu magye mu nkambi ya First Division esangibwa e Kakiri mu Disitulikiti y’e Wakiso akawungeezi akayise.

Abajaasi bano era basiibuddwa n’omulanga nti bwebatuuka mu Bantu ba bulijjo baleme kubafuula kitagasa wabula bakolagane nabo mu ngeri eyaamu, era baleme kubabba oba okubayisa mu ngeri etali nnungi.

Brig. General Sam Kawagga ng’asiibula abajaasi bano yabakubirizza nti byonna byebayize bibayambe era n’abakuutira okukwata obulungi ebyo byonna byebafunye naddala ensimbi zibayambe okukola bizinensi.