Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 116 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Abagoba b’ebidduka ku lw’e Masaka kati bayita Ppanya

October 18, 2016 · Mubiru Ali

Abagoba b’ebidduka abavugira ku luguudo lw’e Masaka kati basazeewo kuddukira mu bukubo  obusaliikiriza obwakazibwako erya Ppanya nga bagezaako okwebalama ekikweto Fika Salaama.

Ekwekweto kino Fika Salaama nga kati kiri mu mwezi gwakubiri , kiwomeddwamu omutwe Police y’ebidduka , ekitongole ky’ebyenguudo  ( UNRA) wamu ne Minisitule evunaanyizibwa ku byentambula, nga bali mu kaweefube w’okukendeeza ku bubenje obubadde bukudde ejjembe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka .

Kinajjukirwa nti ekikwekweto kino wekyatandikira mu mwezi gwa Muwakanya nga abantu abali mu kikumi (100) baluguzeemu obulamu lwa bubenje obutatadde ku luguudo luno okuva omwaka guno lwegwatandika .Wabula  nga kati wetwogerera , amakanda bagasimbye mu bifo bibiri; e Kaddugala ne Katonga.

Wabula webutuukidde kati nga abagoba b’ebidduka abasoba mu lukumi(1000) bagombeddwamu obwala lwa butaba na bisaanyizo wamu n’okutyoboola amateeka g’ebidduka.