Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 713 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abagenze okusisinkana Pulezidenti Museveni e Kibuli tetubamanyi – Kibuli

April 13, 2022 · Mubiru Ali
Director wa Communications, Research and International Relations Dr. Muhammad Kiggundu Musoke okuva mu offiisi ya Supreme Mufti e Kibuli avuddeyo nafulumya ekwandiiko ku bibadde bitambuzibwa nti ekiwayi ky’e Kibuli ne Old Kampala basisinkanye mu State House Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nabatabaganya nti si kituufu kuba bbo nga ab’e Kibuli tebayitibwa era tebabaddeyo.
Ono agamba nti abantu abagambibwa okukiikirira ekiwayi ky’e Kibuli okuli; Sheik Silimani Kasule Ndirangwa, Sheik Muhamoud Ssebuggwawo Kibaate, Sheik Abdul Obeid Kamulegeya ne Sheik Hamid Kateregga bwebatalina buyinza kukiikirira Supreme Mufti yadde okumwogerera.