Abagenze okulaba Omubaka Luttamaguzi bagaaniddwa okuyingira ekkomera
Abawagizi abemikwano n’abenganda b’Omubaka Luttamaguzi Ssemakula ababadde bagenze okumulaba mu kkomera e Wakyato bagaaniddwa okuyingira ekkomera olw’ekirwadde kya #COVID-19. Bannamateeka be bokka bebakiriziddwa okumulaba.

