Abagenze okulaba Bobi Wine babagobedde ku mulyango

Abantu ababadde bagenze okukyalira omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine okubadde babaka banne okuli; Mp Bakireke Nambooze owa Mukono Municipality, MP Zaake Francis Butebi owa Mityana Municipality, Latif Ssebagala Sengendo owa Kawempe North, Allan Ssewanyana Bwino, Asuman Basalirwa, Loodi Meeya Erias Lukwago wamu ne Bannamateeka be bagaaniddwa okuyingira okumulaba nebategeezebwa nti balina kusooka kufuna lukusa okuva eri akulira amakomera Bashaija abategezezza nti ali Agago.
Ono abagambye bakubire Commisioner Mwanje abagambye bakubire Regional Prisons Commander abalemye okufuna. Ku mulyango oguyingira e Luzira bategeezeddwa nti ensonga za Bobi Wine zivunaanyizibwako OC Special Safety Unit Kuyangana Jackson abategeezezza nti erina ebiragiro ebikakali ku kyalira Bobi Wine ebitakiriza muntu yenna kumulaba olw’ebyokwerinda kwe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ababba nnamba puleeti ku mmotoka bali mu ngalo za Police – Kasawo