Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 168 listening Simba FM Live

Abagambibwa okumenya ekkanisa basindikiddwa e Kitalya

August 25, 2020 · Mubiru Ali

Olunaku lw’eggulo Omulamuzi wa Kkooti y’e Makindye yasindise abantu 3 ku alimanda abagambibwa okubeera emabega w’okumenya ekkanisa ya St. Peters mu Ndeeba.
Ku bano kuliko Dodoviko Mwanje agambibwa okubeera nannyini ttaka, Omukozi w’ekitongole ekitwala Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA Ivan Katongole awamu n’omusirikale wa Uganda Police Force SP. Martin Odero nga kati abakakwatibwa baweze 17.