Breaking
News: Bannakibiina ki National Unity Platform 9 okuli Ssekitoleko Yasin Machete, Patrick Mwase, Sharif Kalanzi, Joseph Muwonge, Abdallah Kintu, Umar News: Pulezidenti wEnsi ya Neyimbira Byange 2026 Zubeda Nalumansi Mukisa aka New Style akwasiddwa Piki Piki empya ttuku okuva mu Simba Automotives, News: Emyaka 33 emabega ku lusozi Nnagalabi Buddo, Kabaka wa Buganda owa 36, Maasomoogi Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo, eno yensonga
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 526 listening Simba FM Live

Abagambibwa okugezaako okubba eza Tropical Bank

January 11, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi nga kali wamu ne Uganda Police batutte Munnamakeeta Musa Lukungu mu Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi ku misango gyokwekobaana okunyaga Bbanka ya Tropical akawumbi 1.
Era mu ngeri yemu batutte abakozi ba Tropical Bank 7 mu Kkooti yeemu nga bano bavunaaniddwa emisango okuli; okuviirako bbanka okufiirizibwa wamu n’okwekobaana okubba bbanka akawumbi 1. Bano basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya n’e Kigo.
Bano kuliko; Nabonyene Abdu Aziz-Operations Branch Manager, Nakyanzi Aisha Katongole – Snr Compliance Officer, Imran Sadiq-Relations Officer, Kaggwa Micheal – Sales officer, Anguni Brian -customer service officer, Baiga Sarah-Operations supervisor ne Janer Zainab – Teller.