BREAKING NEWS
Observer: Uganda, Burundi proudly represented through Australia at World Cup Observer: Until governments act, Africans will seek Western citizenships MBU: I thought I was too cool to get HIV – MC Kats reveals mystery MBU: King Saha announces 2026 concert at Kololo Independence Grounds Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General Pulse Uganda: Lukwago taken from home by security operatives Pulse Uganda: Nigerian producer ePianoh urges more collaborations with Ugandan artistes

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

abagagga bedizza olutobazi lw’e namuwonge

Akola nga Dayirekita wa Kampala Ying. Andrew Kitaka asabye Minisita Chris Baryomunsi, Gavumenti eyanguye entegeka y’okusazaamu ebyapa bye yagaba mu bifo by’entobazzi kubanga bannannyinibyo bafuuse omuziziko mu nkulaakulana.
Yaloopye nti waliwo abagagga babiri abaagula olutobazzi lw’omwala gwa Nakivubo mu bitundu by’e Namuwongo naye babalemesezza okutema oluguudo olupya olugatta Namuwongo ku Bugoloobi, luwonye Bannakampala ku bulippagano.
Yategeezezza nti omulimu baali bagutandise nga ne ssente bazirina kyokka tebamanyi bakungu mu kitongole ky’ettaka abaawa abagagga bano ebyapa mu kifo ekirabikira ddala nti lutobazzi.
Bino bibadde mu nsisinkano ebaddewo n’abakungu okuva mu bitongole bya Gavumenti ebikola ku ttaka mu Kampala omuli olukiiko lwa Kampala District Land Board, abawandiisi mu ofiisi ezikola ku by’ettaka, omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Faridah Mpiima Mayanja, omumyuka wa Loodi meeya, Hajjat Sarah Kanyike, n’abamu ku bazze banyigirizibwa ku ttaka.
Kitaka yayanjudde nti ekiseera kino ebyapa ebiwera 19531 tebinnaba kuyingizibwa mu kompyuta za Gavumenti kye yagambye nti kya bulabe ekisobola okuvaako okukeereya emirimu gy’enkulaakulana ssaako okubba ettaka ly’abantu nga balikolera ebyapa ebisukka mu kimu.
Ate omubaka wa pulezidenti mu Kampala, Faridah Mayanja yategeezezza minisita nti yeewuunya abakozi ba gavumenti abakola ebyapa ebisoba mu kimu ku poloti oba ettaka, kyokka ne basigala mu ofiisi nga tebalina wadde kyebakoleddwaako.
Minisita baamwanjulidde emivuyo egiri ku ttaka mu Kampala omuli, omuntu okumugobera ekyapa emyaka egisoba mu etaano, enguzi efuhhamye ku ttaka, babulooka abayitiridde mu ofiisi z’eby’ettaka abavaako okulinnyisa ebisale by’okufuna ebbaluwa yonna mu ofiisi z’ebyettaka ssaako abakozi ba Gavumenti (Registrar) abalina obuyinza ku fayiro obusinga n’obwaminisita.
Minisita Baryomunsi yategeezezza nti bagenda kusazaamu ebyapa byonna mu ntobazzi kubanga olukiiko lw’abaminisita lwayisa dda n’ekirango ne kifuluma.
Yagambye nti buli kyapa baagala kiyingizibwe mu kompyuta okwewala okukola ebyapa ebisoba mu kimu.
Yategeezezza nti bagenda kulondoola abakozi ba gavumenti (Registrar) abalina obuyinza obwenkomeredde n’abakyusibwa ne bagaanira mu Kampala.
Yamenye ofiisi 13 okuli; eya Kampala, Wakiso, Mukono, Jinja, Masaka, Mbarara, Kabalole, Arua, Masindi, Mbale.
N’agamba nti ate bagenda kuggulawo endala mukaaga okuli; Mpigi, Luweero, Mityana, Rukungiri, Tororo, moroto ne Soroti okuyambako okwanguyiza abantu okugoba ku ttaka lyabwe.
Kyokka omu ku bakozi ba Gavumenti akulira zooni ya Kampala, Johnson Bigiira yategeezezza nti abamu ku abagobwa ettaka tebatuukiriza bisaanyizo ate ne batayagala kwebuuza ekibaleetera okulowooza nti abakozi ba gavumenti be bazibu.
Yategeezezza nti tewali alya nguzi era ofiisi zaabwe baazikola nga bonna batuula wamu.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply