Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 125 listening Simba FM Live

Abafumbo beetugidde mu nju ku muti gumu

October 21, 2016 · Mubiru Ali

Police mu disitulikiti y’e Butalejja etandise okunoonyereza ku ngeri abafumbo 2 gyebasangiddwa enkya ya leero nga nga zembuyaga ezikaza engoye bwebasangiddwa nga  balengejjera ku muti mu kasolya k’enju yaabwe.

Enjega eno egudde ku kyalo ekimu ekisangibwa mu Ggomboloya y’e Mazimata ekiri mu Disitulikiti y’ e Butalejja nga abeetuze be ba Makota Hamuza myaka 28 ne mukyalawe Saanula Lusimbo myaka 22 , nga kigambibwa nti ekibaviiriddeko okwetuga kwekuba nti Hamuza yali yabba ente 2 ne bamukwata wabula nebamusonyiwa naye nga abadde asiiba mu nnyumba ne mukyalawe .

Wabula bano webeetugidde wasangiddwawo ebipapula ebigamba nti bo ababi baviiridde ensi eno , abalungi bagisigaleko .