Abaduumira Police bagenze kutendekebwa bukodyo bupya

Ng'obumenyi bw'amateeka bweriisa nkuuli mu bitundu eby'ebbendobendo lya Masaka, abaduumira Poliisi mu Disitulikiti omwenda ezikola ebbendobendo lino batwaliddwa okutendekebwa obukodyo obupya mu ttendekero lya National Leadership Training Institute e Kyankwanzi okusobola okubangulwa ku nkola y’emirimu gya poliisi.

Ayogerera poliisi mu bitundu by'e Masaka Lameck Kigozi, agamba nti abaduumizi bonna baakumalayo emyezi esatu nga kino kyakubayamba okuweebwa obukodyo obupya naddala ku bigenda mu maaso mu kitundu kino.

Lameck agamba nti ng'ekitundu, baakusigala nga balondoola entambula y’emirimu ku Poliisi nga okugenda kwa ba DPC tekirina bwekigenda kubakosa.

Abatwaliddwa bava mu Disitulikiti omuli;  Masaka, Rakai, Kyotera, Bukomansimbi, Kalungu, Lwengo, Lyantonde, Sembabule ne Kalangala. 

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
kitatta wakwewozaako mu january 2019