Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing Simba FM Live

Abadde yeyita Faaza mukwate

July 28, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi e Kasangati ekutte omuvubuka abadde yeyita Faaza wa Bakatoliki nabba ssente ku bantu. Anthony Ssewanyana 30, abadde yeyita Faaza okuva e Rubuga. Yakwatiddwa mu Kkooti e Kasangati gyeyabadde agenze okweyimirira omuntu eyafera obukadde 131.

Kigambibwa nti ono yasisinkana Family y’omuwawabirwa nabategeeza nga bwali Faaza ku kerezia emu mukitundu. Bano bagezaako okunoonyereza ku Ssewanyana oba ngakituufu Faaza wabula nebakizuula nti yeyita kyatali.

Ono abadde anoonyezebwa aba Parish y’e Gayaza kuba yakyalira kerezia mu Parish eno nababba ssente nga agamba nti akungaanya buyambi era nga abadde akulemberamu emikolo gy’ekerezia mingi. Β Ono abadde yakaswazibwa e Kasangati bweyakulemberamu emmisa okusabira omugenzi wabula nalemwa okusoma ebyawandiikibwa.

Ono agamba ensimbi zaabadde afuna zibadde zimuyamba okuyimirizaawo Family ye. Ono akuumirwa ku Poliisi e Kasangati nga bwalinda okutwalibwa mu Kkooti.