Abadde yefudde munnamateeka ataase muganda we omubbi mukwate

Sadam Walakira 30, yefudde Munnamateeka nalabirizza omulamuzi nga afulumye Kkooti nabaka fayiro y’omusango oguvunaanibwa muganda natandika okugisomamu nga ayagala afune engeri gyamutaasamu ekkomera. Muganda we avunaanibwa musango gwa bubbi.
Walakira yasangiddwa omulamuzi Vererian Ahimbisibwe owa Kkooti y’e Lukaya mu Kalungu nga ono yamuguddeko nga yekeja ku mmeeza ye, bweyamubuuzizza ebimukwatako n’amutegeeza nti Munnamateeka wabula olwamusabye ebiwandiiko n’atandika okunanagira kwe kuyita Poliisi eyamugombyemu obwala n’aggalirwa.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Okukebera enkalala z’abalonzi kwongezeddwayo