Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 280 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abadde ategeka okubba Boda boda bamukubye mizibu

August 1, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi e Kakiri etaasizza Bright Mugisha okuttibwa abantu ababadde bataamye obugo nga bamuyita omubbi wa Boda Boda. Okusinziira ku muvuzi wa BOda Boda Mbaziira Issah Henry, Mugisha yamupangisizza okuva ku stage wakolera ku Mabiriizi mu Kampala nga amugambye nti bagenda kugoberera motoka ye gyabamubbako nebakiriziganya ku ssente zalina okumusasula, wabula bwebatuuse wayamugambye walaga, Mugisha namutegeeza nti kati ate bagenda kukwata kubo ddala eribasuula e Kiboga.

Mbaziira kwekwekengera nasalawo akebere omusaabaze we namusanga n’akambe nga kazingiddwa mu kipapula nga akakwese mu mpale, bwatyo nakuba enduulu eyasombye abavuzi ba Boda Boda abalala nebatandika okumukuba.

Ono yataasiddwa Poliisi oluvannyuma lwa Ssentebe w’ekyalo okugiyita. Ono Poliisi yamukutte nemutwala afune obujanjabi.
Poliisi egamba nti yazudde akambe, akaveera nga kalimu empale n’essaati nga kirowoozebwa nti bino byeyabadde agenda okwambala oluvannyuma lw’okutta omuzi wa Boda Boda.