Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 767 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abadde asulirira okuzaala attiddwa mu ntiisa – Mityana

February 19, 2018 · Mubiru Ali

Abatuuze  bo kukyalo Mayirye mu ggombolola y'e Kakindu e mu Disitulikiti y'e Mityana bakeeredde mu ntiisa abantu abatannategeerekeka bwebakkakkanye ku muwala ow'emyaka 18 ne bamutta ngono abadde muzito.

Omugenzi ategeerekese nga Nandagala Velisto omulambo gwe gusangiddwa nga gugangalamye mu kitaba ky'omusaayi enkya ya leero. 

Kigambibwa nti Nandagala olwamaze okulya eky'eggulo mu maka ga bakadde be n'abasiibula okudda mu nyumba mw'abadde asula eri okumpi n'abakadde nga muno oluvannyuma mweyavudde n'afuluma ebweru okunaaba wabula teyakomyewo okutuusa lwe bamusanze nga z'embuyaga ezikaza engoye.

Omwogezi wa Police  mu bituntu bya Wamala, Norbert Ochom akakasizza ettemu lino era n'ategeeza nti Police amaze okugombamu obwala omusajja agambibwa okubeera muganzi w'omuwala ono oluvannyuma lw'okusangibwa nga ezimu ku ngoye ze zivulubanye omusaayi.